Genesis 25:12-16

Abaana ba Isimayiri

12 aBino bye bifa ku b’olulyo lwa Isimayiri mutabani wa Ibulayimu eyazaalibwa Agali Omumisiri, omuweereza wa Saala omuwala.

13Gano ge mannya gaabwe nga bwe baddiŋŋanwako: Nebayoosi, omubereberye wa Isimayiri, ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 14ne Misuma, ne Duma, ne Massa, 15ne Kadadi, ne Teema, ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. 16 bAbo be batabani ba Isimayiri, era ago ge mannya gaabwe, mu byalo ne mu bibuga byabwe mwe baabeeranga, abafuzi kkumi na babiri buli omu n’eggwanga lye.
Copyright information for LugEEEE